1800-9090-8089
help@obsequy.com
123, landmark address

THEREZA NAKAYIMA NSONYIWA MATOVU October 13, 1927 - July 7, 2023

Date of Funeral

July 15, 2023

Tereza Nakayima yazaalibwa Omwami n’Omukyala Lauri Kiwanuka Ssemakula ne Elizabeeti Nalugooti, nga 13/10/1927.
Kitawe ye yali Omulamuzi Omukulu wa Buganda, era Omuserikale wa Paapa.

Maama we ye yali muwala wa Nyansi Masanganzira Lule Mukudde Kyambalanga mu Nyendo, Masaka.
Yasomera Buwanda Primary School, e Masaka, mu budde kitaawe we yaberera Pokino. Bakade be bwe badda e Kampala, maama natwalibwa e Namagunga College, eyo gye yamalira emisomo gye

Ng’amaze okusoma, yafumbirwa Michael Matovu nga 14/11/1942, mutabani wa Resperecio Batemyetto e Mawokota. Michael Matovu we yafa nga 2/8/2009, obufumbo baali babumazeemu emyaka 67. Mu bufumbo baafuniramu abaana 15, abawala 9 n’abalenzi 6 era alabye Ku bazukulu ba nakabirye ne bannakasatwe.

Afudde alina emyaka 96 egy’obukulu.
Ebbanga lye lyonna abadde Mukyala wa waka (house wife); Ng’ojjeeko emirimu gye yakola mu bibiina ebitali bimu, maama Tereza obulamu bwe bwonna yabumala mu maka ngatuukiriza egya waka.
Abadde mujjumbize wa ddiini, mu maka, ku kyaalo, mu Kisomesa ky’e Ssama, ne mu Parish e Ggoli. Abade wa Jje lya Maria, era yazimba Gorota ab’eJje webasisinkanira okusoma sapule.
Twebaza Katonda olw’ekirabo kya maama Tereza Nakayima Matovu. Omukama amuwummuze mirembe.

Omwoyo gw’omugenzi gwa kusabirwa mu e’klezia y’a Rubaga Cathedral ku Lw’okutano nga 14.07.2023 ku saawa Saatu(09:00am) ez’okumakya.

Omugenzi wa kuzikibwa e’ Sserinyabbi, Kammengo-Mawokota ku Lw’omukaaga nga 15.07.2023 bajja kutandika n’ekitambiro ky’e Missa ku saawa Nya (10:00am) ez’okumakya.

Babikidde: Ab’oluganda, abako, n’ab’emikwano.

Omwoyo gw’omugenzi Mukama aguwumuze mirembe

Condolences(2)

 1. REPLY
  Ceaser Muliika Matovu says

  We thank God for the life of Jajja. She’s with the angels now

 2. REPLY
  view says

  Really informative and superb bodily structure of content, now that’s user genial (:.

  Also visit my wweb bog :: view

Leave a Condolence