1800-9090-8089
help@obsequy.com
123, landmark address

SSALONGO ISAAC NNYOMBI SSENDEGEYA September 8, 2021

Yazaalibwa abagenzi Ssendegeya Kizza ne Eseeri Namuli mu 1928 e Naluggi era gyeyasomera ebibiina ebisooka mu Primary.

Nga amaze eby’okusoma, yatandika okukanika motoka nga atandikira e Naluggi era nayitimuka nnyo mukukanika motoka z’ebika Morris ne Hamba. Oluvannyuma, kukukanika yagattako okuvuga taxi okumala ebbanga ly’obulamubwe obusinga obunene. Taxi yagivuga okusinga ku luguudo lwe Hoima era n’amanyibwa nnyo ku stage Nakulabye, Kasubi, Busunju, Bukomero, Kateera ne Kiboga.

Ssalongo Isaac Nnyombi yasenga ku Kawaala mu mwaka 1945 era nga abadde mu kitundu kino ebbanga lyonna era nga kubingi ebimujjukirwako mukitundu kino kwekuba nga yeyasooka okusika amasanyalaze mu Kasubi ne Kawaala.

Bweyawummula emirimu gya taxi, yatandika obulimi e Mpangala-Kateera Kuluguudo lwe Hoima, okutuusa lweyagenda nga anafuwa n’akomawo e Kawaala, wabadde okutuusa Mukama lwamuyise.

ABAANA

  • Robinah Nambwere
  • Roy Nakyambadde (Rip)
  • Henry Musisi (Rip)
  • Ssenkindu Isaac
  • Kyambadde Fred
  • Semanda Eric
  • Deburah Namirimu
  • Yuniya Namatovu (Rip)
  • Rebecca Nalugwa
  • Nanyombi Milly Nalongo (Rip)
  • Godfrey Sendegeya
  • Yosiya Robert Wavamunno (Rip)
  • Wilson Sengonzi
  • Nanyonjo Alice (Rip)
  • Nabayego Betty
  • Ruth Nakayita
  • Kakumirizi James (Rip)
  • George William Ssenyange (Rip)
  • Richard Nnyombi
  • Ruth Nabulega (Rip)
  • Wasswa Yosiya
  • Kato Isaac

 

Leave a Condolence