1800-9090-8089
123, landmark address

OMUTAKA EMMANUEL H. DDAMULIRA SSEBITAABA. December 24, 1933 - April 20, 2023

Date of Funeral

April 28, 2023

Yazaalibwa e Nalubudde-Busujju omugenzi Zacharia Musoke Kigongo ne Maamaawe omugenzi Margaret Namirembe nga 24/12/1933. Baazaalibwa abaana bassatu bokka. Omukulu ye Zabeeti Nabaaleera (Byeyuna Mugagagga) Mu 1930, akyaliwo. Taata Emmanuel H Ddamulira yeyaddako, muto waabwe, ye Tereeza Nabalaba, akyaliwo.
Yabatizibwa nga kkumi na ssattu omweezi ogusooka mu mwaka lukumi mu lwenda asaatu mu’ena. Yafuna komunio embeereberye, ne kofiirimansio.

Okusomakwe: yasomera mu Busuubizi Demonstration nagenda ku SMACK – St. Mary’s College Kisubi. Era okumaliriza emisomo kwali kugaanye naye yatunda pambawe, ate ye Taataawe, yatunda embwaye gyeyali asinga okwagala ennyo okusobola okumalayo ebisale. Yakuguka mu bye ttaka na ddala erya Mailo. Emirimo gye egisooka yagikolera Mubende.

Ezzadde: Omukama yamuwa ezzadde eriwerako. Abaana: Namirembe Maria Goreti, Twemanye Florence (RIP), Nabugo Imacculate Concepta, Nakaaso Rose, Nalubaale Fausta, Rev. Fr. Alexandrew Richard Ssendagi Kizzeyo, Lutwama Bernard, Milly Kyotega (RIP), Ggwayambadde Augustine, Mukasa Joseph Baazireebye, John Vianney Sserubidde, Sarah Kajwaayo, Suzan Nakatinda, Bukeedo Edward, Beleta Alisaarirwa, Teddy Nabalaba, Allen Nanziri, Kikonyogo Pascal (RIP), Betty Nabaaleera, Athanasius Njuba, Michael Balyokwaabwe ne Kizito Baatuuka.

Abazukulu: Alese abazukulu okutuukira ddala ku Nakabirye.
Emirimo gye: Yakolerako e Mubende, Mbarara, Kabaale, Fort Portal, Kampala ne Mukono, yawumula mu gavuumeenti nadda e Mubende gyabadde abeera n’okutuuka kakati.
Nga ali e Mubende, yagatibwa mu bufumbo obutukuvu ne Maama waffe kati Namwandu Irene Baabirye Ddamulira amubeereddewo ennyo mu bulamu ne mu bulwadde. Maama webale nnyo byonna by’okoledde Taata.
Yaloondebwa okubeera Kafumu we’Kika kya Kayozi nga adda mu kifo ky’omugeenzi Rev. Bro. Joseph Mukasa Balikuddembe eyaterekebwa e Kiteredde mu ba Na’Kaloori Brothers. Afiiridde ku mpangi y’obukulu obwo.
Abadde muna byafuzi nnyo nga yesigama nnyo ku Kibiina kya DP.
Y’omu ku ba Chairperson L.C. V abasooka nga atwaala District mu budde obwo nga Kiboga, Mityana, Kyankwanzi, Kasanda Districts tezinakutulwa ku Mubende.
Ebyenjawulo ebimu ku Taata: Abadde ayagala nnyo okuyamba n’okusomesa abaana era asomeseza abantu bangi ab’obuvunaanyizibwa. Abadde ayagaliza. Motto ye ebadde Mazima na bwenkanya. Ayagadde nnyo obwakabaka bwe era abadde aweereza wadde abadde mukoosefu okumala akabanga naye nga atambula. Oluvannyuma lwo’kuwumula mu Public Service, nga wayisewo emyaka 37 yayitibwa okuddayo okukola mu office y’emu mu ministry of Lands e Kampala era akoleddeyo okutuuka COVID bweyajja. Abadde ayagala nnyo eddiini ye eyo Bukatoliki. Mu mutima ogw’obuzadde akuziza abaana betuyitira ddala baganda baffe omwami Charles n’omuto asembayo gwayagadde ennyo asigadde ne Mom Irene nga ye Kirabo Maria baganda bange mbasaba abaana abo temubasuuliirira era mubagale nga bwetukuze nabo.

There will be a Requiem Mass at Our Lady of Fatima Mubende Catholic Parish today on Thursday, 27th April 2023 starting at 04:00pm, there after Vigil will be held at the deceased’s residence at Caltex/Nakayima Mubende Municipality.

Burial will take place at their home in Mityana-Kiganwa Ssingo on Friday, 28th April 2023 at 02:00pm starting with mass at 10:00am

Informed are; Buganda Kingdom, Religious Leaders, Central Government, Local District Council Mubende, Kiboga, Kyankwanzi and Mityana, Relatives, Friends and In-laws.

MAY HIS SOUL REST IN ETERNAL PEACE

Leave a Condolence