1800-9090-8089
help@obsequy.com
123, landmark address

MUBIRU DUSTAN May 14, 2022

Yazalibwa: May 1926
Yawumudde: 11th May 2022

Abazadde be: Omugenzi Musa Ndikwetagira n’omugenzi Namatovu Mariam

Yawasa mukyalawe Nanziri Frastance mu 1953 nebazala abaana 11 ngamubo 7 bagenzi wamu nemukyalawe eyamufaako nga 2007-1-11.

Okusoma kwe

  • Bukalabi Primary School
  • Ndejje Junior School

Emilimu gye
Yakolelako mu Kitutumuzi Growers Cooperative Society era nga mukibiina kino yakolanga omuwandiisi wakyo, eranga mu kyo yasubulanga mubitundu bingi emwannyi wamu ne pamba.
Mu 1981 yayingira mu lutalo lwekiyekera era eyo yakolanga munamawulire, olutalo bwe lwagwa natandiika omulimu gwo bubuulizi bwe njiri era omwo mwawangaalidde ebbanga lyonna. Omulimu guno yagukola nga na maanyi wamu nokwagala buli gyeyawerezanga, yaleka amaze okuzimba ekanisa era abakrisitayo ba mwenyumirizangamu nnyo.

Omwoyo gw’omugenzi gwa kusabirwa mu kanisa y’a Bukalabi Church of Uganda leero ku Lw’okutano nga 13.05.2022 ku saawa kumi (04:00pm) ez’olwegulo, noluvannyuma olumbe lwa kukumibwa mu maka gabwe e’ Kalagala- Mpwedde, Nakaseke District.

Omugenzi wa kuziikibwa e’ Kalagala- Mpwedde, Nakaseke District ku Lw’omukaaga nga 14.05.2021 ku saawa Kumi (04:00pm) ez’olwegulo.

Babikidde: Ab’oluganda, a’b’ako, n’ab’emikwano.

Omwoyo gw’omugenzi Mukama aguwumuze Mirembe

 

Leave a Condolence