Marjorie Bulyaba yazalibwa nga 25th November 1942 Omwami n’omukyala Yesse Mugalu(RIP) ne Juliet(RIP) e Busukuma – Namulonge Gayaza.
Yasomera Gayaza Primary School, era nagenda e Namagunga gyeyasomera Senior School. Bweyamala nakola obuwandiisi (Secretary)
Yabeera ne munne Samson Mukasa Luwugge (RIP) okuva 1961-04/04/2004.
Katonda yabawa abaana kuminababiiri(12) n’abazzukulu bangi ddala. Alabye ne kubazzukulu ba Nakabirye.
Obuvunanyizibwa bwe:
Abadde ayagala nnyo Katonda n’obwakabaka bwe. Abadde mpagi luwagga mu famire era nga Maama ajudde ebyokulabirako nkuyanja mu kugunjula abaana n’okubasomesa. Yaweerezaako mu Kkanisa ya St. Stephen’s Kayunga era y’omu ku bagizimba.
Abadde mulimi mukukutivu e Buwoola mu Kyaggwe, ne Ssenge mu Busiro nga alima amatooke, ebimuli, nebiraala. Mu mwaka ogwa 2001 Y’omu kubalimi abaasinga mu ggwanga era nafuna omukisa ogulambula abalimi mu Uganda yonna.
Mubyobufuzi, yaweerezako nga owabakyala owa Local Council 1 ow’ekyalo, era abadde mu bibiina byabakyala ebiwerako nga tanalwala.
Obulwadde
Yatandika okulwala mu mwaka 2009 era nga alaba abasawo mu ddwaliro lya Cadic hospital,baamukebera nga alina obulwadde bwa Pressure eya waggulu era yamala nagenda e Mulago nalaba Dr. Eyoku naamukebera buli kimu ne basanga nga ebitundu bye byonna ebyomunda byali biramu naye nga Pressure eri waggulu.
Mu September 2010 yakeera okukola emirimu gye nga bulijjo, naye okusituka naaggwa nga tasobola kutambula na ddusibwa ku Mayo Clinic ne bategeeza nti yali afunye situlooko (stroke).
Okuva olwo obulamu bwayongera okunafuwa era nga 17 December 2018 yali agezako okusituka naddamu naaggwa nasowoka omuggulu era naatwalibwa e Mulago nebamulongosa. Olwobunafu teyadda yo waka naasigala ne muwala we okumujanjaba ppaka lweyawumudde ku Sunday 11th April ku ssaawa bbiri ez’ekiro.
Vigil is going to be held at their home in Ssenge, Busiro today on the 13th April, 2021.
Burial will take place at their ancestral home in Ssenge, Busiro on Wednesday 14th April, 2021 at 04:00pm.
Informed are; Relatives, Friends and In-laws.
1 Condolence for MARJORIE BULYABA KIZZA LUWUGGE
Condolence(1)
Niwaha Charity Rukara says
April 14, 2021 at 7:27 amMay the Lord comfort the family and rest Mum’s soul in Eternal Peace- Amen