1800-9090-8089
123, landmark address

LOVINA NALUMANSI BUKENYA December 24, 1937 - November 21, 2023

Date of Funeral

November 24, 2023

Maama Rovina Nalumansi yazaalibwa nga 24/12/1937 kukyalo Kirumba, Kaliisizo Masaka.

Kitaawe yemugenzi Bruno Mukasa agalamidde e Muwanga Bbinikira nga yeddira Ffumbe, Nyina yemugenzi Solome Nakimera eyeddira enseenene muzukulu wa Zeziwe, Muzukulu wa Lubuzi bonna nga beddira Ffumbe.

Asibuka mulunyiriri lwa nkulagule, e Muwanga Bbinikira.

Ava mu mutuba gwa Ssenoga ekisaalwale, Ava mussiga lya magunda e Lwanga, mukasolya ka Walusimbi e Bakka.

Yasomera Kirumba Primary School e Kaliisizo Masaka era eyo gyeyamalira Primary School eyali ekoma ku kibiina ekyokuna.

Yava mu family ngayaddiini nnyo era emisomo gye gyonna yagimala bulungi. Taata we Omugenzi Bruno Mukasa yeyatandika ekisomesa kye kirumba era yeyali omusomesa wakyo eyasookera ddala. Awono eddiini yaginywera ddala okuva ewaka.

Mu 1953 yajja okukyalira mwanyina Emmanuel Ssengendo eyali azze okuseenga ku milo ya jajja we Zeziwe. Eyono gyeyasaanga Kabiite we Yoronimu Bukenya era mu 1954 ne bafumbiriganwa mu Kelezia ye Matale e Masaka.

Mubufumbo bwabwe baayagalana nnyo era bba yali amweyitira Kabilikaalili. Wadde ebisomooza byaliwo mu myaka egisukka mu 55 gyebaamala mu bufumbo obutukuvu, teyanobako mulundi nagumu.

Mubufumbo bwabwe, Omukama yabaweeramu abaana nabazukulu babadde yeenyumirizaamu ennyo ddala.

Wadde abadde asoomoozebwa endwadde yamagulu, abadde mugumikiriza era tewali lunaku nalumu lweyemuluugunnya eri Katonda.

Nga 6/11/2023 Stroke yamukuba naddusibwa muddwaliro elya Doctor’s Hub e Mityana omusawo we gyakolera. Embeera yabijja era enkeera naatwalibwa mu Ambulance mu ddwaliro eddene e’ Nsambya gyeyafiiridde nga 21/11/2023.

Weebale nnyo maama, jajja, ssenga byonna byotukoledde, byonna byotuyigirizza. Ffe ebbanga lyonna tukusigazza mu mitima gyaffe. Tulabire boona abantu baffe era bamalayika bakwanirize era bakwanjule eri Bikira Maria gwewayagala ennyo, ate ye akwanjule eri Omwana we Yezu Kristu.

Wummula mirembe, tujja kusubwa nnyo.

Omugenzi wa kuziikibwa e’Bbinikira, Kassanda-Singo ku Lw’okutano nga 24.11.2023 ku saawa Munaana (02:00pm) ez’olweggulo, bajja kutandika ne kitambiro kye missa ku saawa Mukaaga(12:00pm) ez’o mutuntu.

Babikidde:  Ab’oluganda, abako, n’Abemikwano.

Omwoyo gw’omugenzi Mukama aguwumuze mirembe

 

Leave a Condolence