Jjajja Kevina Namyalo yazaalibwa nga 18 June 1932. Bakadde be – be bagenzi Leo Kizito ne Selina Nva Nazziwa ababeeranga e Bukasa Bukimu mu kigo ky’e Mulajje. Yabatizibwa e Mulajje nga 18 September 1932. Era eyo gye yamalira emisomo gy’eddiini gyonna nga Confirmansio yamuweebwa Bishop Michaud agalamidde e Lubaga. Baazalibwa abaana basatu era nga ye yali omuggalanda kati nga bonna bagenzi.
Mu mwaka gwa 1945 yajja e Lubaga Girls school okusoma ekibiina ekyokutaano. Yeenyumiririza nnyo mu Sr. Mildred eyali omukulu w’essomero eyamwagala ennyo kuba bambi yali muto nnyo, ate ng’ava mu kyalo nga n’obwavu mwavu era yali yeesiba nkutu. Ebigezo by’ekibiina ekyomukaaga yabiyitira ddala waggulu (lipoota ye w’eri na kati) era ne yeegomba okusoma obusawo. Kyokka bambi olw’ensimbi teyasobola kutuuka ku kirooto kye, olwo nnyina yali anobye ate ne kitaawe n’afa. Ekifo kye baakikuuma omwaka mulamba naye shs. 10 ne zibula. Olw’ekyo yeeyama nti bw’aliba afunye omwana ajja kusala gonna okumuweerera, ekyo nno yakituukiriza anti teyakoma ku baana be bokka naye yagattako n’abazukkulu. Batabani be 2 baali bazimbi ba bbaluwa, owookusatu yafiira mu kkomera nga yaakamala diguli mu byobulimi mu university e Makerere; entambwe lwali lutalo lwa bannaffe bano abeeyita abanunuzi. Omuggalanda ye Sr. Margaret Nnakimera SSPC.
Teyali mufumbo wa mpeta naye mu myaka eyo egye 60 ng’amaze okunoba, yagoberera enjigiriza z’omugenzi Msgr. Bonaventura Sserunkuuma ezidda ku Mutima gwa Yezu n’ebisuubizo 12. Jjajja teyadda mabega kuba yasoma emyezi 9 n’afuuka munnakibiina omukuukutivu. Olwo yesizza ddala ku gy’eklezia anti yali munnaggye, munnamuddaali, munnaBlue Army, yeekwata Maria Thereza Ledochowska n’ebirala. Wakati mu gy’eklezia, omugenzi Msgr. B. Sserunkuuma yamusaba okuyamba okujanjaba nnyina Maria Nnamatovu, omulimo gwe yakolera ddala obulungi era alina bingi omukadde oyo bye yamulekera ne bye yamugamba. Ng’amaze okuva mu nsi, obulamu obwaddirira nga bali e Lubaga tebwali bwangu anti batuuka n’okugoya emmere y’enkoko. Kyokka oluvannyuma yegatta ku nnyina awamu ne muganda we abaali babeera e Busega era awo we yabeera okutuusizza ddala mu December wa 1990 lwe yakyusa obuufu okudda e Namungoona nga mutabani we ate kitaffe – John Buyisi amaze okuva mu nsi.
Jjajja yenyumiririza nnyo mu ky’abaana be okufuuka abakatoliki anti jjajja musajja yali mukristaayo. Yayagala nnyo abaana ba Zebedayo era bw’atyo batabani be abasooka 2 yabatuuma Yoanna ne Yakobo.
Mu kusoma bwino n’okuwandiika Jjajja abadde mmo era n’ebitabo bye okuviira ddala ku kibiina ekisooka nakati abirina. Chai w’okunywa ng’amunywa bw’asoma Baibuli. Ng’ali e Lubaga mu ssomero, ye yalondebwa okusoma obubaka obuyozaayoza Ssaabasumba Louis Cabana nga n’ebimu ku bigambo ebyali mu bbaluwa eyo abadde abiddingana lunye: “Gute ngutoole… emmeeme ya buli omu eseka kamwemwenge…” E Busega yakola ogw’obusomesa bw’eddiini ku mulembe gwa Fr. Bazilio Baabumba ne Fr. Joseph Nsereko ate ku gwa Fr. Charles Ssekiyonga n’abeera omusakristia, oweebyensoma okwo n’agattako n’okulimira bafaaza emmere. Omulimo gwe omukulu gwali gwa kufumba na kulima eri ew’omw. n’omuky. James Ddungu – Kyapampalaasi e Busega Nateete. Ng’ali eyo abadde ajjukira omulundi gwe yafumbira n’okukwata mu ngalo mu budde obwo Omulangira Ronald Muwenda Mutebi – kati Kabaka era ng’agamba mbu yasanyuka nnyo okulengera ssappule mu mmotoka y’omulangira. Era eyo ng’ayambibwako Fr. B. Baabumba yafuuka olutindo olwatuusa Cardinal Emmanuel Nsubuga okukyalako ew’abakulu abo yadde baali bakristaayo.
Mu desemba wa 1990 nga tumaze okufuuka enfuuzi, Jjajja yabakana n’ogw’okutulabirira wakati mu bwavu obuzibu. Mu budde obwo eno nga wonna nsiko abamu nga bayitawo na matongo. Omulimo gwe yakola mu budde obwo nga gwa kutema bisagazi bye yetikkanga ppaka e Nateete nga buli kinywa kya shs. 500. Yalimanga ewa musawo Kitandwe awo e Busega nga ku nkulungo. Yasogolanga omubissi – ‘soda water’ yateekangamu otuzzi otuwera ebikopo bisobole okuwera anti buli kimu nga kigula shs. 50. Okuyoola kasasiro, okwera enguudo era nga yeeyitanga wa City Kansulo. Nga tayagala kubeera mu kijamani- anti abadde musaaze nnyo. Yalongoosa ne ku eklezia ey’ekisomesa e Namungoona era bassabakristu ab’obudde obwo nga Mw. Ssemakula ne Mw. Kiwanuka baamuwagira nnyo. Wadde yabeeranga mu buzina naye ettooke ng’alya lyoze. Yayagalanga nnyo okulya omugaati n’ekyennyanja anti Yezu bye yagabula.
Yakola nnyo okukuuma ekibanja kino we tuli kati. Ng’agamba: ‘nze saatundako yadde ‘decimal’ naye ne musoma.’ Ebyekika nga bwe biba waliwo abaalaga obuluvu naye ye yabagamba kimu: ‘musaleeko kye mwagala, anti ne nnyini kyo yakireka.’ Yayagala nnyo okuziikibwa ku e eklezia era bwatyo yafuna ekirowoozo mu mutima ogw’okwebaza Katonda olw’ebyo by’atukoledde okuwaayo akatundu kano we tuli kabe k’eklezia. Twebaza bwanamukulu mu budde obwo Fr. J B Ssemanda eyasemba ekirowoozo kino. EKIROWOOZO KINO KYALI KYA JJAJJA. Ffe abalala ekirowoozo ky’okuzimba chapel twagiwagira buwagizi. Twebaza Sr. Margaret olw’okufuuka olutindo omwayita ssente ezasooka okusitula eklezia eno.
Obulamu bwa jjajja bwatandika okunafuwa naddala mu mwaka gwa 2017 ng’amaze okufiirwa mutabani we mu mwezi gwa April. Naye bwe yakyaza Cardinal Emmanuel Wamala nga 23 May 2017 obulamu bwakomawo era ekyo abadde akinyumyako lunye. Abadde nno abeerawo bwatyo okutuuka amaanyi agatambula lwe gaabula mu bbanga ntono ddala ng’olwo asitulwa buzitulwa okutuuka lwe yafuna akagaali mw’abadde atambulizibwa. Nga 19 June 2022 yali mbaga wano anti lwe twakuza amazaalibwa ge age 90. Jjajja yali musanyufu era byonna yabigoberera bulungi. Twebaza Katonda nti waakiri ffenna twasobola okubeerako naye mu ssanyu ku olwo.
Abantu bangi abatukwatiddeko mu bulamu bwa jjajjaffe, okutuuka lwe yassa ogw’enkomerero eri e Bugerere nga 23 September 2022 ng’obudde bukya. Jjajja yafiira mu ddembe era tusaba Omukama amukuumire mu ddembe eryo!
Olumbe lwa kukumibwa mu maka gabwe e’ Namungoona 1, Luyinja Zone ku Lw’omukaaga nga 01.10.2022.
Omugenzi wa kuzikibwa mu maka gabwe e’ Namungoona 1, Luyinja Zone ku Sande nga 02.10.2022 ku saawa Kumi (04:00pm) ez’olwegulo, nga bajja kutandika nokusaba ku saawa Munaana (02:00pm) ez’emisana.
Babikidde: Ssabasumba w’essaza ly’a Kampala, Abasaserodooti ne Banaddini bonna, abantu ba Katonda mwenna, Ab’oluganda, abako, n’ab’emikwano.
Omwoyo gw’omugenzi Mukama aguwumuze Mirembe
Leave a Condolence