1800-9090-8089
123, landmark address

JANE FRANCIS NAZZIWA KAYIZA February 25, 2022

Maama Jane Francis Nazziwa Kayiza yazaalibwa nga 24 December 1924.
Ku lunaku olwo lweyinnyi yatwalibwa e Kitovu n’abatizibwa Fr. Michaud.
Kalimwezi, konfirmasio n’omugigi yabimalira Kabwoko Parish.
Primary esooka okutuuka Primary eyokuna yagisomera Bwanda, bwe yava e Bwanda yagenda mu Nkozi Teacher’s College natendekebwa ng’omusomesa omuyigisa eyo yamaliriza emisomo ggye mu 1941.

Taata: Emmanuel Kayiza
Maama: Jane Francis Nazziwa Kayiza

Abaana b’omugenzi
Angelina Nakubulwa (RIP)
Margaret Nanfuka
Anne Beatrice Naggayi
Charles Ssekitto(RIP)
Rose Nabunnya
Josephine Florence Nanziri
Catherine Nanfuka
Magdalene Nakayiza
Maria Nakitto
Betty Nakawungu

Yasomesa mu Masomero gano
Ggayaaza Primary School
Kisubi Girls Primary School
Yafuna obufumbo obutukuvu nga 20th October 1945. Amaka gaabwe gasooka kubeera Ntebbe okutuuka mu 1950. Eyo gye baava ne nadda e Kitende. Oluvanyuma mu 1953 basenga e Nsangi era wagenda okuziikibwa.
Obulamu yali Mukyala Mulimi, mulunzi ate nga Musuubuzi. Abadde musanyufu nnyo ate nga ayaniriza nnyo abantu bonna. Ayagadde nnyo Katonda era abadde mujumbize nnyo nga yenyumiriza mu ddiini. Mu kwagala kweyayagalamu Katonda yatonera Kelezia Ettaka okuzimbiddwa ekifo kyensirika Nsangi Vincentian Retreat Center.
Twebaza Katonda ekirabo ekyobulamu bwa maama. Tusaba omukama amuwumuze mirembe. Twebaza nnyo bonna abamulabiridde, abasawo ababadde bamujjanjaba n’abasaserdooti abangi abamulabiridde mu bulamu obwomoyo.
Mwenna Katonda abatuweere omukisa

Leave a Condolence