1800-9090-8089
123, landmark address

ESTA NAMUKASA KASSE SSENTONGO April 14, 1936 - November 23, 2024

Date of Funeral

December 14, 2024

Omugenzi Esther Namukasa Kasse Ssentongo yazaalibwa nga 14/4/1936; nga azaalibwa Omw. Yokaana Kasse (RIP) n’omukyala Manjeri Kasse (RIP); ku kyalo Kyamuyimbwa – Masaka. Omugenzi yafa nga 23/11/2024 essaawa 9:00 ez’olweggulo (yafa nga aweza myaka 88 egy’obukulu). Twebaza Katonda olw’obulamu bwe.

ABOLUGANDA L’WOMUGENZI.

  • Esta Namukasa Kasse Sentongo (RIP)
  • Hon Nanziri Kasse Mubanda (RIP)
  • Etheal Nakuya Mukasa (RIP)
  • Ruth Kasse Mwandha-Luboobi (RIP)
  • James Hannington Mukasa Kasse (RIP)
  • Eriya Paul Bbaale Kasse (RIP)
  • Margret Kasse Musajjakawa
  • Clere Katuramu Kasse
  • Rosette Kasse Dunn

OKUSOMA KW’OMUGENZI

Yatandika okusoma mu ssomero eryali ku kyalo waggulo ku Lusozi e’ Kyamuyimbwa gye yamalira J1; oluvannyuma n’adda e’ Kabuwoko C/U gye yamalira J2. Yeeyongerayo mu Senior e’ Kabuwoko C/U. Yagenda mu Ttendekero okutendekebwa mu Buserikale bw’amakomera. Era yakolerako mu Uganda Prison y’e Masaka nga akuuma abasibe. Yatendekebwa mu mirimu gy’eby’emikono omuli okutunga ekyalaani n’okuwunda abakyala. Yasibanga abagole era abagole bamujjumbiranga nnyo.

EMIRIMU GY’AKOZEEKO

Nga avudde mu Prison, yayingirira eby’obusuubuzi; nga yalina amaduuka mu bitundu ebyenjawulo omuli: Kikuubo, Nakulabye ne Mengo. Ebintu yabisuubulanga Nairobi, Malaba ne Busia.

Yasuubulako n’amatooke mu biseera by’entalo (ku mulembe gwa Obote II).

Maama ono yali mukulembeze ku L.C I ku kyalo Ntinda – Kakungulu; era bangi baamwebuuzangako; abato n’abakulu.

Maama yayagala nnyo Ekika kye eky Omutima, Eddiini ye ey’Obukristaayo, era afudde yayatula obulokozi mu 1980; Yasabiranga mu Lutikko e’ Namirembe olu-vannyuma n’adda mu St. Luke’s Church Ntinda.

Abadde Omukyala ayagala ennyo abaana’be, ab’oluganda Iwe, n’abantu bonna okutwaliza awamu.

Abadde omukyala atayagala kumulimba.

Yayagalanga nnyo Colour ya Purple.

Yatambulanga nnyo ng’afuluma okugenda emitala wa Mayanja mu nsi ez’enjawulo.

OBULWADDE BWE

Yatandika okulwala mu 2016; yafuna Stroke n’agwa mu kinaabiro, n’afuna obukosefu ku mukono ogwa kkono n’okugulu; era okuva olwo teyaddamu kutambula.

Asisinkanye abasawo abakugu ab’enjawulo bangi nga ayambibwako baganda be Late Hon. Fridah Mubanda, Late Ruth Mwanda ne Mrs. Musajjaakaawa Margaret nga banoonya obulamu.

Ajjanjabiddwaako mu malwaliro ag’enjawulo okuli: Kiseminti e’ Kololo, Kisoga Clinic, Stroke Rehabilitation Centre, Kiwenda Clinic (ewa Musawo Doreen), Lubaga Hospital, Kibuli (Kyanja branch) n’e Kibuli Muslim Hospital (nga ajjanjabibwa Dr. Wasswa),

Omugenzi Esther Namukasa Kasse Ssentongo yafumbirwa era yazaala abaana 13 bano wammanga: –

  • Francis Njawuzi (RIP)
  • Robert Ssemwanga (RIP)
  • Aloysius Lubega Sande
  • Josephine Lwanga K.
  • Charles Mawanda (RIP)
  • James Mukasa
  • Juliet Ssebunnya
  • Nalukwago (RIP)
  • Francis Kiggundu (RIP)
  • Elizabeth Katende
  • Michael Baabumba (RIP)
  • Edward Kafeero
  • John Ssentongo

Ku baana 13 be yazaala, abalamu abakyaliwo bali 7; ate 6 Mukama yabayita.

Waliwo n’abaana abalala be yafuna abatali ba mu ntumbwe ze (Adopted) nga be bano: Moses Kiwanuka; ng’ono yamufuna nga wa kirira ate ye Namutebi Aidah yamufuna nga wa myaka 6.

Omugenzi w’afiiridde nga alina abazzukulu abawera n’abaana b’abazzukulu mu kino twebaza Katonda olw’ebibala bya mukadde waffe oyo.

There will be a Funeral Service at St. Luke Church of Uganda Ntinda on Friday, 13th December 2024 starting at 09:00am, followed by vigil at their home in Kyamuyimbwa- Masaka District.

Burial will take place at their home in Kyamuyimbwa- Masaka District on Saturday, 14th December 2024 at 02:00pm.

Informed are; Relatives, Friends and In-laws.

MAY HER SOUL REST IN ETERNAL PEACE.

Leave a Condolence