1800-9090-8089
123, landmark address

OMULANGIRA JACK KASATO KIRONDE July 17, 1928 - April 14, 2023

Date of Funeral

April 15, 2023

Omulangira Jack yazalibwa nga, 17th July 1928 eri bazadde be, Omulangira Samwiri Erinest ne Miriam Kironde. Mu 1931, Maama Kironde yaffe naleka Jack ne banne, Katolini ne Erias nga bato. Okusinga Jack yakulira wa kojja we Eridadi Mulira e Namirembe. Yasomera e Mengo Central School ne King’s College Budo nga eno yali mudusi nnyo.

Emirimu gye yagitandikira mu Uganda Bookshop e Mengo gyeyava nagenda ne Lydia Mulira mu mawulire, mu Uganda Empya, gyeyatuuka ku ddala ly’obwa manager. Emirimu gye yagyongerayo mu Uganda Press Trust. Oluvanyuma, yatandikaawo Nssudde Deco ne muto we Fred Wampamba Kironde. Eyo gyeyava natandika company eyiye, Property Consultants Ltd.

Omulangira Jack bagatibwa n’omuzaana Ruth Nalwadda mu mwaka gwa 1961 era nga Mukyala Sarah Mulwana yeyali Matron of Honor. Family yaba Yokana Kagwa e Ntale, Budu nabekikka gye bamuzaala. Yabagala nnyo ate nabo bamwagala nnyo.

Omulangira Kironde yayagala nnyo sports naddala omupira era mu team ze Uganda yali muwagizi wa Express nga ate mu Premiere League yali muwagizi nnyo wa Liverpool ekibuga muwala wabwe, Tina Nabaloga Roberts gyeyazikibwa era nga n’omwami we Ted Roberts gyazalibwa. Yayagalanga nnyo okusoma naddala, amawulire n’ebitabo. Era nga anyumirwa nnyo Movies ne TV, naddala programs za sports n’amawulire.

Omulangira Jack abadde mukozi nnyo mu bantu era abadde ayagala nnyo ekanisa ye eya St. Luke Makindye. Era y’omu kubatandika wo n’okuyimirizaawo choir y’ekanisa eno. Abadde mpagi nene mu YMCA era nga yakolako nga omuwanika waayo. Abadde mu na Rotary mu Club ye Makindye.

Omugenzi yazaala abaana musanvu omuli Henry Ndawula, Tina Nabalooga Roberts (Omugenzi), Annete Nakalema, Tendo Erinesti, Suna Robin, Angela Kagere Lubowa, ne Sarah Mugale Musoke.

Vigil is going to be held at their home in Makindye- Kizungu Lane today, 14th April 2023.

There will be a Funeral Service at St. Luke’s Church, Kibuye on Saturday, 15th April 2023 starting at 09:00am, followed by burial at their ancestral home in Busozi- Bulongo, Kira Town Council.

Informed are; Relatives, Friends and In-laws.

MAY HIS SOUL REST IN ETERNAL PEACE

1 Condolence for OMULANGIRA JACK KASATO KIRONDE

Condolence(1)

  1. REPLY
    Catherine Nampewo says

    Nze Catherine Nampewo. Nzaalibwa omugenzi James Kitagenda Jjuko ate ndi muzzukulu wa Musa Kayondo Muwaguza e Nabweru. Tusibuka mu Kabaka Kanakulya e Musaba. Tutuusa okusasira eri ab’ennyumba y’omugenzi Jack Kironde. Omugenzi Eria Kironde naye yali mukwano gwaffe nyo. Tusaba Mukama Omwoyo gwe aguwe ekiwummulo eky’emirembe ne family agigumye mu kaseera kano akazibu.

Leave a Condolence