1800-9090-8089
123, landmark address

KASALINA NASSUUNA GALIWANGO June 4, 1929 - February 18, 2025

Date of Funeral

February 22, 2025

Maama Kasalina Nassuuna Galiwango yazaalibwa nga 4 June 1929 ku kyalo Ntale, Kalungu mu Buddu. Ye yali omwana omubereberye ow’Omwami Yokaana Mulyanga Gasuza Kaggwa n’omukyala Tabisa Najjemba Kaggwa.

Baganda be abamuddako be bano wammanga:-

  • George William Ntale Kaggwa.
  • Phyllis Namazzi Kaggwa ow’e London.
  • Charles Wilson Junju Kagwa (Omugenzi).
  • Edward Sserwadda Kagwa (Omugenzi).
  • Ruth Nalwadda Kironde (Omugenzi).
  • Architect Tony Kiyimba Kaggwa (Omugenzi).
  • Joni Kayemba Kagwa.
  • Samwiri Kisekka Kagwa.
  • Rose Nantale Kibuka.

Kati oluvannyuma Iw’okugenda kwa Maama Kasalina Galiwango abaana ba Jjajja Yokaana Kaggwa ne Jjajja Mukyala Tabisa Najjemba Kaggwa abaali ekkumi (10), basigaddewo bataano (5).

Okusoma kwe n’okukola kwe.

Yatandika okusoma kwe mu Kabungo National Anglican Church (NAC) era mu kiseera ekyo lyari likoma ku P4. Bwe yamalako P.4 n’agenda mu Buloba Boarding Demonstration School eyali awamu ne Buloba Teachers College. Bwe yava eyo n’agenda mu Ndejje Teachers’ College oluvannyuma eyafuuka Lady Irene College, Ndejje, ku mulembe gw’omukyala PAT DRAKLEY eyali Omukulu wa College eyo okuva mu 1938 okutuusa 1961.

Maama Kasalina Galiwango ne banne bwe bali basoma okwaali ne Maama Faith Kajubi e Bunnamwaya, ne Edith Kato e Mutundwe, baali bampisa nungi. Omukyala PAT DRAKLEY n’asaba eyali akulira ebyenjigiriza Provincial Education Secretary mu Anglican Church of Uganda Namirembe bonsatule abatume mu Jungo Church of Uganda Primary School. Banne ababiri baali balokole naye ye, nga tannalokoka, kyokka nga wampisa nnungi. Olumu Omukulu w’Essomero Jungo C.O.U Primary School yabulwa ebbanga okunona emisaala gy’abasomesa okuva ku Education Office e Namirembe, era mu ekyo yeesiga Maama Kasalina Nassuuna Kagwa nga bwe yayitibwanga mu kiseera ekyo anoneyo omusaala okuva ku Education Office e Namirembe.

Mmotoka zamuleka natambuza bigere okutuuka e Namirembe, era yamala ennaku bbiri nga asuzeeko ne mu bantu be e Kampala. E Jjungo yaddayo n’omusaala gwabasomesa bonna – teyabuzaako wadde ennusu emu. Yakyusibwa n’atandika okusomesa mu Mengo Girls School kati gye bayita Mengo Primary School abambala kiragala, era eyo n’amalayo emyaka esatu. Mu mwaka gwa 1949 nga 31st Desemba bwe yafumbirwa Omwami we Martin Luther Galiwango eyali akola mu East Africa Railways & Harbours Corporation nga akolera Naivasha mu Kenya, okusomesa e Mengo Primary School n’akumala, oluvanyuma n’afuuka omukyala alabirira omwami we nabaana be; eby’okusomesa n’abiwummulamu. Naye bwe baakomawo e Uganda, n’addamu okusomesa, era yagenda Nateete Primary School. Awo yasomesezzaawo emyaka kkumi n’omusobyo. Era mu kkanisa muno mulimu bangi be yasomesa.

Obulamu obw’amaka

Maama Kasalina yafumbiriganwa n’Omwami Martin Luther Galiwango nga 31 Desemba mu 1949.

Katonda yabawa ebirabo eby’abaana aboobuwala era n’aboobulenzi era be bano:-

  • Rhona Nakibuuka Galiwango.
  • Tabitha Kyenalaba Nanyingi eyafumbirwa Mr. Richard Sembatya Mukisa.
  • Solomon Kiyegga Galiwango eyawasa Viddah Nabaggala.
  • Margret Nalwoga eyafumbirwa Mr. George Erisat.
  • Charles Kenneth Tusuubira Galiwango
  • Alice Nakyekoledde eyafumbirwa Mr. Joel Kisubika.
  • Phyllis Mirembe eyafumbirwa Mr. Charles Kasambula – Mpuuga (eyawummula).
  • Ruth Mulungi eyafumbirwa Mr. Tony Williams.
  • David Mwesigwa Galiwango eyawasa Brenda Nandawula Sserebe.
  • Timothy Kirabo Galiwango eyawasa Kabalaya Katongole.
  • Samali Kuteesa Galiwango.

Katonda era yabawa n’abazzukkulu abiri mu babiri (22) ne ba nakabirye musanvu (7). Mukama yabasanyusa mu maka okusingira ddala bwe bamala okulokoka mu 1957. Baabera bombi emyaka nkaaga (60) n’emyezi musanvu (7) ne nnakku kumi na bbiri (12), omwagalwa we Taata Martin Luther Galiwango n’awummulira mu Mukama waffe (n’agenda mu ggulu) nga 12 August 2010. Twebaza Katonda akuumye Maama nga nnamwandu emyaka egyo gyonna.

Okulokoka kwe n’Omulimu Katonda gw’amukozesezza mu ggwanga lino.

Maama yalokoka mu April 1957. Kyaddirira Taata Martin Galiwango okulokoka nga 7th April 1957. Olunaku lumu Taata Martin yajja ku katandaalo Maama kwe yali ayoleza essowaani n’ebikopo era n’amusaba amuyambeko okwoza ebintu. Kino kyabuulira Maama enjiri eyamulokola kubanga mu myaka omusanvu gyebaali baakamala mu bufumbo, yali tamulabangako ng’ayoza ebintu. Taata Martin yagamba nti enjiri eyebikolwa Maama bwe yalaba ng’Omwami we akyukidde ddala naye n’akkirizza nti Yesu yali alokolera ddala era awonya.

Bwe baamala bombi okulokoka ne beeyongera okugasa East Africa Revival Fellowship era ne Kanisa ya Uganda.

Ku ludda olw’omwoyo, amaka gaabwe baagawaayo okulera n’okujjanjaba abantu ba Katonda abavubuka era n’abakadde. Maama Galiwango abaana bonna abayita mu maka ge oba ba balamu be oba balokole, bonna yabatwalanga kyenkanyi nga tasosola nti ono gwe nzaalira ddala oba waaluganda. Abaana abaayitako mu maka ge nga balokole ate ne balemwa okulokoka yasigala ababala nga baana be era teyakola ng’abalala bwe bagamba nti oyo omwana twasisinkana Iwa kulokoka. Obanga ebyokulokoka abivuddemu nze si kyakwatagana naye.

Maama Kasalina, ng’omuntu yawaayo ettaka lye ory’obwanannyini e Masaka eri Revival ya Uganda n’akola Transfer era n’abaana be bakimanyi. Bwe waaberangayo Students’ Conference ye n’omwami we Martin nga bawaayo ente namba okuddukirira omulimu gw’abavubuka ab’omu masomero.

Tetuyinza kumalayo kunnyonyola byonna Katonda bye yabakozesa n’omwami we. Bwe kyatuuka okuzimba Yonna Mondo Memorial Hall, Taata Galiwango ng’awagirwa Maama Kasalina baakubiriza abooluganda okusonda sente ez’okuzimba ekizimbe ekyo era nabo ne batoola sente nnyingi okuva mu nsawo yaabwe ey’amaka.

Ekizimbe ekyo kyagulibwawo Ssabalabirizi wa Church of the Province of Uganda nga 2nd January 2010 era gwemulimu omutongole Taata Galiwango gwe yakomako okukola oluvanyuma nagenda mu ggulu. Twebaza Katonda olw’abooluganda ab’e Nateete abalambudde ennyo Maama nga bamuzaamu amanyi olw’obulamu obw’omwoyo. Twebaza nnyo abaana bonna olw’okujjanjaba ennyo Maama.

There will be a Funeral Service at her residence in Nateete, Kampala today, 21st February 2025 starting at 04:00pm.

Burial will take place at Mackay Church of Uganda- Nateete Graveyard on Saturday, 22nd February 2025 starting with a Funeral Service at 10:00am.

Informed are; Reverends and Church Members, Mackay Church of Uganda Nateete, The Bishop Namirembe Diocese, The Archbishop of the Province of Church of Uganda, Residents of the Nateete Community, all the Reawaken brethren, Relatives, Friends and In-laws.

LET US PRAY FOR THE FAMILY

Leave a Condolence