1800-9090-8089
123, landmark address

GRISON KIGUNDU KIWANUKA May 27, 2021

Ebikulu mu bulamu bwe, mu bufunze

Yazaalibwa nga October 17, 1937. Nga abazadde be baali abagenzi Andereya Kiwanuka ne Norah Nakandi.

Yasomera: Seeta Nazigo Priamry School, Makerere College School ne Nakawa Business College.

Yakola omulimu gwa Accountancy mu: Ministry of Education, Ministry of Works, Bible Society of Uganda,  ne mu LACO Construction Company.

Obuweereza bwe mu kkanisa: Yatwaala obuvunanyizibwa mu bifo bingi mu Church of Uganda:

  • Omukebezi mu lutikko e Namirembe;Omuwandiisi wa Chapter,;
  • Omukubiriza mu St. Apolo Kivebulaya, Kansanga okumala emyaka 8; Omukiise munkiiko ze kkanisa ku muluka, obusumba n’obusabadiikoni;
  • Ssentebe wa Fathers’ Union ate oluvannyuma omuwandiisi wa FU;
  • Omukulembeze wa Hannington Zone mu St. Apolo Kivebulaya;
  • Omukiise ku kakiiko akazimbi; omuyimbisa era omuyimbi mu choir ya St. Apolo Kivebulaya, Kansanga.

Obuvunaanyizibwa mu gavumenti mu kitundu kye:

Yali Ssentebe was LC1 ne 2 okumala emyaka mingi.

Abadde Ssentebe wa PTA ya Kansanga Primary School okutuusa wafiiridde.

Obulamu bwe mu maka:

Yafumbiriganwa ne mukwano gwe Sarah Victoria Nabulime nga June 12, 1962, era nga omwezi ogujja babadde ba kuweza emyaka 59 mu bufumbo. Newankubadde Mukama teyabawa baana baabwe ku bwabwe naye bakuzizza n’okusomesa abaana bangi.ate ab’obuvunanyizibwa.  Muno mulimu:Florence Babirye, Pastor Godfrey Ssenyonga, Kyagera, ne Ssegawa. Mu kiseera kino ate balabirira abazzukulu abava mu bamu ku bano. Omwami n’omukyala Kigundu era balaze eky’okulabirako nga bafaayo nokulungamya abaana ba bannaffe be baabakwasa nga abayima nga bbo bavudde. mu nsi.

Mwami Kigundu yafudde ku sawa 6 ez’omu ttuntu ku lunaku olw’okubiri nga May 26, 2021.

Omwoyo gw’omugenzi gwa kusabirwa mu kanisa y’a St. Apollo Kivebulaya, Kansanga ku Lw’okusatu nga 26.05.2021 ku saawa Munaana (02:00pm) ez’emisana, n’oluvanyuma olumbe lwa kukumibwa mu maka g’omugenzi e’ Kansanga, Kigundu Zone.

Omugenzi wa kuziikibwa e’ Kasokoso, Zirobwe ku Lw’okuna nga 27.05.2021 ku saawa Munaana (02:00pm) ez’emisana.

Babikidde:

Reverand eyawummula Bishop Wilberforce Kityo Luwalira ow’a Lutikko e’ Namirembe, Bishop Katumba ow’a West Buganda Diocese, Arch Deacon, Hon. Mendi Kijjambu ow’a Mengo, Ab’oluganda, abako, n’ab’emikwano.

Condolence(1)

  1. REPLY
    Sarah Nsubuga says

    Kitalo nyo nyo, ekya mukwano gwaffe. He was highly honored but maintained a humble approach, eloquent and polished gentleman. Will be greatly missed. May he rest in perfect peace.

Leave a Condolence