1800-9090-8089
help@obsequy.com
123, landmark address

BENEDICT JOSEPH WALAKIRA April 5, 2021

Yazaalibwa mu ddwaaliro lya St. Francis Nsambya nga 10 December 1927. Bazadde be be bagenzi Alex Kabanda Ssajjabbi ne Stella Namatovu.

Yasomera Mubende Primary School okutuuka mu P.4. Okuva 1942 yasomesaako mu Seminary emyaka ebiri, era oluvannyuma y’ayingira St. Mary’s College Kisubi emyaka mukaaga (1944-1949). Yeegatta ku Makerere University College mu Faculty ya Science (1950-19532) n’asoma course yobusomesa. Bwe yatandika okukola yasomesa mu St. Henry’s College Kitovu emyaka mwenda ng’asomesa okubala. Bakamaabe bwe baamusiima bamutwala nga Assistant Education Officer mu Kampala mu 1963. Omwaka ogwaddako bamutwala mu Faculty of Education eya London Univesity n’akuguka mu kuwandiika n’okutegeka ebitabo (Writing, editing and publishing books). Yatendeka abantu bangi mu mulimu guno na’akomyewo. Oluvannyuma bamwongera mu maaso nga Inspector of Schools. Mu ssa lino yakuzibwa emirundi egiwera okutuuka lwe yalinnya ku ddaala erya Assistant Chief Inspector of Schools okutuusa nga 31 December 1982.

Bwe yamala emirimu gya Government yayitibwa okuyamba mu kuddukanya Caltec Academy e Makerere, era yakkiriza. Eno namalayo emyaka abiri mu ebiri era emirimu n’aginnyuka ku nkomerero ya 2004 n’adda mu makaage e Lubaga. Ebintu byagenda bulungi okutuuka lwe yalumbibwa obulwadde bwa Laryngeal Cancer baamujanjabira mu Durban ekya South Africa.

Oluvannyuma yazuulibwamu obulwadde bwa sukalli bw’abadde alwanagana nabwo, obuleese n’ebirwadde ebirala ebyongedde okunafuya omubiri gwe okutuusa lwa’wumudde mu Case Hospital nga 2 April 2021.

Mukyala we: Joyce Lutwama Walakira, Abaana: Stella Bukirwa Nsubuga, Fred Anthony Makumbi, Grace Bridget Namukasa, Florence Namukwaya (RIP), Martin Yawe (RIP), Richard Ddumba ((RIP), Dorothy Nabbanja Ntumwa, Joanita Roselyn Nabweteme, Alex Mathias Kabanda, Jacqueline Nalwoga Kalule, Rena Nanyanzi Mukasa , Ian Robert Ddumba ne Sonia Innocence Nantume.

There will be a Funeral Service at Rubaga Cathedral on Sunday 4th April, 2021 starting at 4:30pm followed by vigil at their home in Rubaga.

Burial will take place at their ancestral home in Kyanakasi- Masaka on Monday 5th April, 2021 at 02:00pm.

Condolence(1)

  1. REPLY
    Tshepo Walakira says

    my dad loved you.

Leave a Condolence